Eng. Ronald Balimwezo Nsubuga, awangude akalulu k’Obwaloodimmeeya bw’ekibuga Kampala nga amezze munnamateka, Erias Lukwago abaddeko n’abalala mukaaga. Eng. Balimwezo afuuse Loodimmeeya wa Kampala owokubiri okuva Kampala lweyakyusibwa nafuuka ekitongole okuyitibwa Kampala Capital City Authority.
