Blessed Paapa

Kaliddinaali Robert Francis Prevost okuva mu USA  alangiriddwa nga Paapa ow’omulundi ogwe 267.

Omulangira wa eklezia Robert Francis Prevost alonze erinnya lya Paapa Leo XIV.

Ye paapa asoose okuva mu ssemazinga wa America.

Paapa Leo XIV yazaalibwa mu 1955 mu kibuga  Chicago mu ssaza Illinois erya USA, aweza egy’obukulu 69.

Alina obutuuze bw’eggwanga lya Peru ng’aweereza emirimu gya eklezia ng’Omuminsani, era yaliko Bishop Chiclayo mu Peru.

Yaabadde akulira akakiiko ka eklezia akasunsula abalondebwa ku bw’episikoopi mu nsi yonna okuva mu 2023, era nga Paapa Francis yeyamulonda okufuuka Kaliddinaali.

Omukka omweru gufulumye okuva mu Sistine Chapel ku ssaawa emu ey’akawungeezi n’eddakiika 5, ba Kaliddinaali 133 gyebamaze ennaku 2 nga bevumbye akafubo k’okulonda Paapa addako ow’omulundi ogwe 267.

Ebide bye Vatican, akaluulu ak’oluleekeleeke n’emizira bisaanikidde ekibangirizi kya St. Peter’s Basilica emitwalo n’emitwalo gy’akristu gyebakuηaanidde okwaniriza Paapa omuggya, ng’eno omukka omweru bwegwolekera obwengula bwa Vatican.

“Habemus Papam” ekiri mu lu latini ekivvuunulwa nti Tufunye Paapa, ennaku z’omwezi ziri 08 May,2025.

Cardinal Protodeacon Dominic Mamberti yaalangiridde erinnya lya Paapa alondeddwa.

Paapa Leo XIV agenze okulonze okulondebwa ng’envuuvuumo nnyingi ezibadde e Vatican nga ziraga nti obuvunaanyizibwa bumugwanira, era nga babadde baamukazaako n’erinnya lya PAPABILE nga balaga nti Bwe Kataligirya…

Azze mu bigere bya Paapa Francis amannya ge amabatize n’amazaale Jorge Mario Bergoglio, paapa ow’omulundi ogwe 266 eyava mu bulamu bw’ensi nga 21 April,2025, ku myaka 86 egy’obukulu, era nga ye Paapa eyasooka okuva mu ssemazinga ya South America mu ggwanga lya Argentina.

 

Okwogera kwa Paapa Leo XIV okusookedde ddala

Omulangira wa Eklezia omutukuvu Paapa Leo XIV atandise nakwagaliza mirembe eri abakristu bonna n’ensi yonna.

Ayogedde ku mugenzi Paapa Francis nti obuntubuolamu bw’abadde nabwo bwetaagisiza ddala okuyungibwa ku kristu, akole ng’olutindo olugatta omuntu ne Katonda, kwekusaba buli mu kristu asabire munne okuyungibwa ku lutindo lwa Kristu.

 

Paapa Leo XVI agambye nti olugendo olw’okutuusa eklezia mu nsi Katonda gyeyagitegekera beteekeddwa okulutambulira awamu.

Mu kuwumbawumba azzeemu okusaba efukamire esabe Maria Omuabeererevu Nnyinakatonda amufukeko emikisa gye mu lugendo lw’obwa Paapa lwataandise, awo n’awa abakkiriza omukisa ogusookedde ddala nga Paapa.

 

(Visited 1 times, 1 visits today)

You might be interested in

Post A Comment For The Creator: Mirembe Sharon

Your email address will not be published. Required fields are marked *