Cast Day of My Office

Hello Brothers and Sisters, how are you today, I hope you are feeling better.

My Office
Written by Jonathan k kabaka, film star of Uganda, Pastor Wa Ghetto, sunlightug.com

Synopsis
Film eno ekwata ku basoloongosa toilent ebizibu byebasanga ne birungi byebasanga ku teri mulimo mubi.

1. Ext kumakya mizigo , tulaba emizigo gyabapakingisa mingi girabika bulungi, tulaba gyona gikyali migale tugenda okulaba nga Omu agulawo ayitibwa brasta nga yambade esuuti alina ne breath case nafuluma nagalawo bulungi ne kufulu bweyatuuka mu makati mulugya nafukamira nasaba omutonzi amukulembere.

Baster
Ayi mukama kwebaza byona byonkolera bye ndaba ne byesiraba era nkwebaza nokunkeeza buli kanaku era nsaba onkulembere ku murimo gwange era nsaba office yange abantu betongere okugyeyuna nokugyeyagaliramu ebanga lyonna.

Bweyamaliriza esaala nasitula nagenda ku mulimo,cut.

2. Ext ku makya Kubo kibuga tulaba ebiduka biduka nga nabebigere batambula ne jaamu bwabakwata, tugenda okulaba owabooda ne customer we bali mukuyomba olwa jaamu era ekyavaamu customer navaako ku booda natandika emisinde owabooda namusaba sente naye nga customer takyawukira, no wabooda nafuna wapakinga booda nagoberera customer mpaka lwebabulirayo,cut.

3. Ext ku makya mu toilet, tulaba Baster ngali busy nokulongoosa toilet muzigo ku muzigo era tulaba nga gyona girabika bulungi, wabula yali akyalongoosa customer aduuse ku booda nayingira ngaffa era yatuuka ayingira buyingizi toilet nagalawo, baster nagya ku mulyango gwa toilet nga mungivu.

Baster
Gwe sebo ayingide Ani akuwade olukusa okuyingira my office nga tosasude?.

Customer Voice over
Makawange nsonyiwa mbadde ffa wabula kamalirize ngenda kusasula.

Tulaba Baster ngadda emabali namulinda era tulaba nga wayiseewo edakiika eziweera customer tavaayo, baster natunula ku saawa nga wayiseewo edakiika kumi era kwekubulira customer sente zatuseemu.

Baster
Customer walabula manya ebanga lyonalayo zesente zo , kuba kati wakamalayo edakiika kumi ze nkumi sattu, ate olina nokuwa fine, wayingiza engatto zo mu my office .

Wabula customer teyamudamu mpaka lweyafuluma Nakwata mu waleeti nagyayo omutwalo naguwa baster nga tayogede kigambo kyona , tulaba Baster nga bala change wankumi taano nazidiza customer, wabula tulaba customer abeera yakabaayo bwati mu toilet nga kumbe obweda no wabooda obweda amulindide wabweru wa toilet era namukwatirawo etaayi nga yagala sente era tulaba nga customer akwata enkumi biri naziwa owa booda wabula owabooda nazigaana nga yagala nkumi taano era customer nazimuwa, owa booda namuteraawo etaayi era namubuuza oba leete booda amwongereyo.

Owabooda
Kati konsasude nsobola nokwongerayo.

Customer
Kwezo sente obeera oyagala ndala.

Owabooda
Era bwekiri.

Customer
Genda kanfune omulala.

Era nebawukana bulyomu nakwata Kubo lirye,cut.

4. Ext still kumakya toilet tulaba Baster ngali mukwaza nigiina zaba customer, zebambala nga bayingira office era zamaliriza zayanika, era yali akyayoza newagya customer no mwana .

Baster
Customer nsanyuse okubalaba, mwagala vip oba ordinary?

Customer 2
Tulage ku vip?

Baster
Vip zezino zonna emizigo.

Customer 2
Ate ordinary zo zeziriwa era ombulire ne bisale.

Baster
Ok , mugye tugende eno emanju.

Customer
Ate ekyasente nga tozitugambye?

Baster
Vip edakiika ya bisatu ate ordinary edakiika ya kikumi ate vip okyusa engato ate ordinary tokyuusa, VIP osasula ovudeyo ate ordinary asasula tonazikozesa, kale byebyo mu bumpimpi.

Customer 2
Ok katukozese vip.

Era tulaba nga baster abawa engatto zokwambala era nebambalirawo nebayingira office bulyomu yiye nebagalawo, tulaba nga wayiseewo akaseera maama wakaana nga vaayo mu office nabuuza baster oba tekanavaayo

Customer 2
Mukulu akaana kakyaliyo mutooyi?
Baster
Nyabo that is my office, not tooyi, era ekyo kyikwongezamu ku sente .

Customer 2
Owekitibwa bansonyiwe mba simanyi.

Baster
Obutamanya tebukugyisako musango, gwe tolaba nga nayambade office wear.

Customer 2
Sebo nsaba kunsonyiwa.

Baster
Nkusonyiye, kuba baibuli atulagira okusonyiwa.

Era customer 2 nafukamira neyetonda, baster natunula kusaawa ate customer 2 nagenda kulugi lwo mwana, natandika okumuyita,

Customer 2
Owaaye taveeyo?

Omwana
Please wait.

Customer 2
Wangi baby

Omwana
Please wait

Customer 2
Ogambye ki?

Omwana
Please wait a bit.

Customer 2
Naye gwe kaanaagwe, tosobola kwogera bigambo bye mpurira.

Baster
Nyabo tewasomako?

Customer 2
Bwekiri taata

Baster
Kituufu kyebogera nti obutasoma bulwade.

Customer 2
Omwana bikyi byagamba, anti munange mukakitange yanemesa okusoma.

Baster
Sorry bambi, kuba bangi bebalemeseza.

Voice over mwana
Open for me.

Baster agenda okutunula kulugi lwakaana maama yalusibye, nagenda nagulawo.

Customer 2
Bambi webale.

Era tulaba customer 2 ngabuuza sente, zasasula.

Customer 2
Kati otubanjayo sente meka?

Baster
Haaha, bileke nkusonyiye kuba bambi, bakukola bubi nyo ate nonsanyusa nti gwe , omwana omutade musomero lyabeeyi, kuba oluzungu alutegeera.

Customer 2 nafukamira wansi neyebaza no mwana, nasigala ngatimiride neyebaza muluzungu, maama namugamba nti afukamire yebaze , baster namugamba yebaziza mu luzungu, wabula nga maama ayagala wade yebaza muluzungu afukamire, babeera bakyali awo newagya ba customer abalala banna abawala biri nabalenzi babiri, batuuka bulyomu ayingira muzigo gwe, era nebegalira wabula nga customer 2, ayagala omwana afukamire era mpaka omwana lweyafukamira neyebaza mu luzungu wabula baster nasaba customer 2 adeyo asome okwabakulu kuba nti baster naye asomye bukulu, ateera akyasoma kuba kati Ali mu p4, customer 2 abeera akyawakana baster naleeta ebitabo bye ne bigezo byo mwala guno gwenyi 2024, ekintu ekyasanyusa omwana ne customer 2, era tulaba nga customer 2, asaba baster enamba ye simu, bweyamala okuwabdiika enamba namwebaza nebasibuula no mwana, nebagenda era ne baster nasigala nga sooma English mpaka abayingide office lwebavaayo bulyomu namubalira sente nga nyingi nebakwata ne ku mitwe nti bbo bamanyi tooyi zibeera za bitaano, era okukakana nga balongoseza buli awabade wetagibwa okulongoosa bwebamaliriza baster nabagyako sente zebalinawo nabagamba nti olulala tebamala gayingura office yo muntu nga tebafunye lukusa, nabaleka nebagenda,cut.

6. Ext misana ku office ya baster, tulaba ngaleeta akameeza ne bitabi nebibuuzo nabiteeka ku kameeza natuula nagyayo nesimu nagenda ku online nagenda mu google search natekamu , yaaka.cc , neleeta byayagala okusoma era tulaba nga buli kyayagala okusomako akifuna, wabula abeera nakatandika okusoma newagya customer 3 nga mutembeeyi Wa wangoye , nafuna waziteeka nagenda awali baster.

Customer 3
Sebo akalungi kaliwa kemba ngendamu?

Baster
Waliwo vip ne ordinary.

Customer 3
VIP zeziriwa?

Baster
Zezino zenyi ate ordinary ziri banju, oba zoyagala nga nkutwalayo era nebagenda ku ordinary, cut.

7. Ext misana mudde bwa lunch, tulaba Baster ali ku online yaaka.cc asoma ku skeleton, nebamukubira esimu nagikwata.

Baster
Ya mere reeta wabula singa kwagala matooke omanyi ndi mu nabuddu, cut.

Tugenda okulaba nga wagya omuvubuka Wa cutex , omusiizi wenjala ngayagala office wabula ngalina akacupa kaUganda walagi nasooka nakakwasa baster, nagenda muza ordinary, wabula abeera yakagenda baster nasumulula walagi namukutamira nemusigalamu butono, owenjala bweyakomawo nebamudiza walagi nga taweera, owenjala nakyusizaawo face, nabulizaawo amunywedeko.

Cutex
Ani akugambye anywe ku walagi wange?.

Baster
Kati ako akatono kenywedeko kakuyombya?

Cutex
Ngalwaki kale bwekibeera bwekityo nange sigenda ku kusasula.

Baster
Bwoba kyoyagala kyoba okula.

Tulaba babeera bakyakayana aba kcca ba biri nebayingirawo basanga owa cutex akute akacupa kawalagi nakasulirawo kumbe bamulabye dda nebamugamba akalondeyo ne baster neyebuzabuza.

Kcca 1
Muli ku mwenge nga mukyakola eteeka lyo nwenge mulimanyi oba temulimanyi?

Baster nawanika omukono wabula nga bonna batamidde, nebamulonda.

Baster
Nze eteeka ndi manyi.

Kcca 1
Ligamba litya?

Baster
Nti tokirizibwa kunywa kitamiiza ngoli ku mulimo oba nga esaawa tezinawera kuminabiri ezekaeungeezi.

Kcca
Kati kyikyi ekyikunyweseza ku mulimo ng’ate obudde tebunawungera?

Baster
Nsaba nkusonyiwa, obuzibu owa cutex yazze nagwo ate nagukwasa.

Kcca
Ko gwe komenye amateeka.

Tulaba nga baster bamukubamu kibooko ate owa cutex nebamuteeka ku mpongu nemutwala nti akola bwanywa ate agezaako nokusikiriza abalala, era tulaba nga baster asigade nga naye kibooko zikyamuluma aziga gamuyitamu, ow emere nayingirawo nemere baster bweyamulaba nayesimuula mangu aziga ne buzabuza ngatanakabako, wabula omwana wemere, bweyamulaba namubulizaawo kyabade.

Baster
Munange omutwe gunuma naye simanyi dagala liyinza kumponya , ewemere namusaba sente amuletere edagala, tugenda okulaba ngate baster atandise ku kwana mwana wamere, era namuyimbira nakayimba okukakana nga omuwala agude mu love ne baster era nebayingira office babiri nebegaliramu,cut.

8. Ext misana Kubo maduuka, tulaba omuwala nga buuza tooyi zebasasula, nebamulagirira era nadukirawo emisinde, owe dduka nasigala nga seka nti kirabika abade affa abeera akyali awo nomulala nagya nga buuza tooyi, era naye namulagirira naye nagenda,cut.

9. Ext misana ku toilet tulaba olugi lukyali lugale nga bwe balukoona baster no wemere bakyalimu, wabula omuwala nayingirawo eyabade abuuza tooyi zokusasula, yatuuka abayita naye nga tewali amudamu kwekuyingira mu muzigo nagalawo, abeera nakayingira newagya no musajja no mukazi nebasooka nebayita nabo nga tewali abanyega nabo nebekolako era tulaba nga buli agya yeyekolako namala nagenda, cut.

10. Int Misana ewa kakembo sitting room, tulaba baster yebasse otulo mu ntebe ali mukufuluuta ali mukurooto, nga bwakolo kumbe tebanamutwa nakumulimo, era okukakana nga nfuuse muntebe omusulo negukulukuta, kakembo kwekugulaba agenda okuwulira nga wuunya, nayiturawo Nakakande mukyalawe namuga baster kyakoze, era tulaba kakembo yali ayagala kumuba olwobusiru naye Nakakande namugaana, era nebamugolokosa nti agende afuyiise wabweru, era tulaba baster nga yebwalabwala, nga muswavu, nafuluma nagenda ebweru kakembo nasigala ngabuuza ekyaalo gyebamugye, era kakembo nagamba Nakakande nti amutwarirewo ne Ku office okusinzira ku kyakoze cut.

ugandanfilmstars@gmail.com

For more information

+256 755 379 966 , +256 700 986 522

Casting directors Jonathan k Kabaka and Mirembe Sharon
(Visited 4 times, 1 visits today)

You might be interested in

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *